Genesis 28:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waggulu ku ddaala nga wayimiriddewo Omukama, n'agamba nti: “Nze Mukama Katonda wa jjajjaawo Yiburayimu era Katonda wa Yizaake. Ensi kwe weebase nzija kugikuwa n'ezzadde lyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era nga Mukama atudde waggulu waalyo. Mukama n’agamba Yakobo nti, “Nze Mukama Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka; ensi kw’ogalamidde ndigikuwa ggwe n’ezzadde lyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, laba, Mukama ng'ayimiridde waggulu waago, n'ayogera nti, “Nze Mukama, Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka: ensi gy'ogalamiddeko, ndigikuwa ggwe n'ezzadde lyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era Mukama ng'ayimiridde, waggulu waago, ng'agamba nti: “Nze Mukama Katonda wa Aburahamu jjajjaawo, era Katonda wa Yisaaka. Ensi gy'ogalamiddeko ndigikuwa ggwe ne bazzukulu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, Mukama ng'ayimiridde waggulu waago, n'ayogera nti Nze Mukama, Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka: ensi gy'ogalamiddeko, ndigikuwa ggwe n'ezzadde lyo;