Genesis 28:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezzadde lyo liriba ng'enfuufu y'ettaka; ojja kugaziwa ebugwanjuba n'ebuvanjuba, emambuka n'emaserengeta; amawanga gonna ag'ensi galiweebwa omukisa mu ggwe ne mu zzadde lyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ezzadde lyo liriba ng’enfuufu y’oku nsi, era olibuna obugwanjuba n’obuvanjuba era n’obukiikakkono n’obukiikaddyo. Mu ggwe ne mu zadde lyo amawanga gonna ag’oku nsi mwe galiweerwa omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ezzadde lyo linaabanga ng'enfuufu ey'oku nsi, era olibuna ebugwanjuba, n'ebuvanjuba, n'obukkiikkakkono, n'obukiikaddyo: ne mu ggwe ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu bo baliba bangi ng'enfuufu ey'oku nsi. Balibuna ebugwanjuba n'ebuvanjuba, n'ebukiikakkono n'ebukiikaddyo, era mu ggwe, ne mu bazzukulu bo, ebika byonna eby'oku nsi, mwe biriweerwa omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ezzadde lyo linaabanga ng'enfuufu ey'oku nsi, era olibuna ebugwanjuba, n'ebuvanjuba, n'obukiika obwa kkono, n'obwa ddyo: ne mu ggwe ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.