Genesis 28:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndi naawe, era nzija kukukuuma yonna mu ŋŋendo zo; ndikukomyawo mu nsi eno; mazima sigenda kukwabulira, okutuusa lwe ndituukiriza byonna bye nkusuubizza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga buli gy’onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno, kubanga sirikuleka okutuusa nga mmaze okukola ekyo kye nkugambye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, laba, nze ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga gy'onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno; kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okukola bye nkugambyeko.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laba, ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga yonna gy'onoogendanga, era ndikukomyawo mu nsi eno, kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okutuukiriza ebyo bye nkugambye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, nze ndi wamu naawe, era naakukuumanga gy'onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno; kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okukola bye nkugambyeko.