Genesis 28:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atya, n'agamba nti: “Ekifo kino nga kitiisa! Wano si kirala, wabula nnyumba ya Katonda, wano mulyango gwa ggulu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atya nnyo, n’agamba nti, “Ekifo kino nga kyantiisa! Ekifo kino ye nnyumba ya Katonda, era guno gwe mulyango gw’eggulu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atya, n'ayogera nti, “Ekifo kino nga kya ntiisa! Kino, mazima, ye nnyumba ya Katonda ddala, era gwe mulyango gw'eggulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atya n'agamba nti: “Ekifo kino nga kya ntiisa! Ekifo kino ddala ye nnyumba ya Katonda, era gwe mulyango gw'eggulu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atya, n'ayogera nti Ekifo kino nga kya ntiisa (ekifo) kino ye nnyumba ya Katonda ddala mazima, era gwe mulyango gw'eggulu.