Genesis 28:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo bwe yazuukuka ku makya n'addira ejjinja lye yali azizise omutwe, n'alisimba ng'empagi, n'aliyiwako omuzigo ku mutwe gwalyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo n’agolokoka ku makya, n’addira ejjinja lye yali yeezizise n’alisimba okuba empagi n’ayiwa amafuta ku mutwe gwalyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'addira ejjinja lye yeezizise wansi w'omutwe gwe, n'alisimba okuba empagi, n'alifukako amafuta ku ntikko yaalyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'akwata ejjinja lye yazizikako omutwe gwe, n'alisimba libe ekijjukizo, n'alifukako omuzigo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'addira ejjinja lye yeezizise wansi w'omutwe gwe, n'alisimba okuba empagi, n'alifukako amafuta ku ntikko yaalyo.