Genesis 28:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Situka, genda mu Paddani-Aramu mu nnyumba ya Betweli, kitaawe wa nnyoko, eyo gy'oba weefunira omukazi mu bawala ba Labani kojja wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Golokoka ogende e Padanalaamu mu nnyumba ya Besweri kitaawe wa nnyoko, ofune omukazi omu ku bawala ba Labbaani mwannyina nnyoko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Golokoka, ogende e Padanalaamu, eri ennyumba ya Bessweri kitaawe wa nnyoko; weewasize eyo omukazi aliva mu bawala ba Labbaani mwannyina nnyoko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Situka ogende e Paddanaraamu, mu maka ga jjajjaawo Betweli azaala nnyoko, weewasize omukazi ku bawala ba kojjaawo Labani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Golokoka, ogende e Padanalaamu, eri ennyumba ya Bessweri kitaawe wa nnyoko; weewasize omukazi alivaayo ku bawala ba Labbaani mwannyina wa nnyoko.