Genesis 28:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne yeeyama nti: “Katonda bw'aliba abadde nange, n'amala ankuuma mu lugendo lwe neetaddemu, n'ampa emmere ey'okulya n'engoye ez'okwambala,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo ne yeerayirira ng’agamba nti, “Katonda bw’alibeera nange, n’ankuuma mu lugendo luno lwe ndiko, n’ampa emmere okulya era n’ebyokwambala ne nkomawo mirembe mu nnyumba ya kitange,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo ne yeeyama obweyamo, ng'ayogera nti, “Katonda bw'anaabanga awamu nange era bw'anankuumiranga mu kkubo lino lye ŋŋendamu, era bw'anaampanga emmere ey'okulya, n'engoye ez'okwambala,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yakobo ne yeeyama obweyamo buno eri Mukama nti: “Bw'onoobanga awamu nange, n'onkuumanga mu lugendo lwange luno, era bw'onompanga ebyokulya n'ebyokwambala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo ne yeeyama obweyamo, ng'ayogera nti Katonda bw'anaabanga awamu nange era bw'anankuumiranga mu kkubo lino lye ŋŋendamu, era bw'anampanga emmere ey'okulya, n'engoye ez'okwambala,