Genesis 28:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ejjinja lino lye nsimbye ng'empagi, liriba nnyumba ya Katonda, byonna by'oliba ompadde ndikuwaako ekyekkumi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ejjinja lino lye nsimbye okuba empagi liriba nnyumba ya Katonda, era n’ebyo byonna by’ompa ndikuwaako ekimu eky’ekkumi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ejjinja lino, lye nsimbye okuba empagi, liriba ennyumba ya Katonda; era ku byonna by'on'ompanga siiremenga kukuwa ggwe ekitundu eky'ekkumi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ejjinja lino lye nsimbye okuba ekijjukizo, liriba nnyumba yo, ayi Katonda, era ndikuwa ekitundu ekimu eky'ekkumi ku bintu byonna by'olimpa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ejjinja lino, lye nsimbye okuba empagi, liriba ennyumba ya Katonda: era ku byonna by'onompanga siiremenga kukuwa ggwe ekitundu eky'ekkumi.