Genesis 28:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yizaake n'amusiibula, Yakobo n'agenda mu Paddani-Aramu ewa Labani mutabani wa Betweli Omwaramu mwannyina Rebekka, nnyina Yakobo ne Ezawu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Isaaka n’asiibula Yakobo, Yakobo n’agenda e Padanalaamu ewa Labbaani, mutabani wa Besweri Omusuuli mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Esawu ne Yakobo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaka n'asindika Yakobo; n'agenda e Padanalaamu eri Labbaani, omwana wa Bessweri Omusuuli, mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Yakobo ne Esawu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaka n'asindika Yakobo e Paddanaraamu ewa Labani mutabani wa Betweli Omwarameeya era mwannyina Rebbeeka, nnyina Esawu ne Yakobo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaka n'asindika Yakobo: n'agenda e Padanalaamu eri Labbaani, omwana wa Bessweri Omusuuli, mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Yakobo ne Esawu.