Genesis 28:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezawu n'amanya nga Yizaake awadde Yakobo omukisa n'amusindika mu Paddani-Aramu gy'aba awasa omukazi, ng'ate bwe yali amuwa omukisa yamukuutira nti: “Towasanga mukazi mu bawala Bakanaani,”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Esawu n’ategeera nga Isaaka awadde Yakobo omukisa, era ng’amusindise e Padanalaamu afuneyo omukazi, era nga bwe yamuwa omukisa yamukuutira nti, “Towasanga ku bakazi Abakanani,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Esawu n'ategeera nti Isaaka yasabira Yakobo omukisa, era n'amusindika okugenda e Padanalaamu okwewasizaayo omukazi; era n'ategeera nti bwe yamusabira omukisa yamukuutira obutawasanga mukazi Mukanani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Esawu n'amanya nga Yisaaka yawa Yakobo omukisa, era nga yamusindika e Paddanaraamu okwewasizaayo omukazi. Era n'amanya nti bwe yamuwa omukisa, yamukuutira obutawasanga mukazi Mukanaani,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Esawu n'alaba nga Isaaka yasabira Yakobo omukisa n'amusindika okugenda e Padanalaamu, okwewasizaayo omukazi; era bwe yamusabira omukisa n'amukuutira ng'ayogera nti Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani;