Genesis 28:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kwe kugenda ewa Yisimayeli n'awasaayo Makalati muwala wa Yisimayeli mutabani wa Yiburayimu mwannyina Nabayoti, nga tobaze bakazi bali be yali alina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Esawu n’agenda eri Isimayiri n’awasa omukazi erinnya lye Makalasi, muwala wa Isimayiri, mutabani wa Ibulayimu, mwannyina wa Nebayoosi, n’amwongera ku bakazi be yalina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agenda ewa Isimaeri, omwana wa Ibulayimu, n'awasa muwala we Makalasi, mwannyina Nebayoosi, okuba mukazi we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agenda ewa Yisimayeli, omwana wa Aburahamu, n'awasa muwala we Mahalati, mwannyina Nebayooti, n'amwongera ku bakazi be abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Esawu n'agenda eri Isimaeri, n'awasa wamu n'abakazi be yalina Makalasi muwala wa Isimaeri omwana wa Ibulayimu, mwannyina Nebayoosi, okuba mukazi we.