Genesis 29:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo bwe yalaba Rakeli muwala wa Labani kojja we n'endiga za Labani kojja we, n'agenda, n'aggyawo ejjinja ku luzzi n'anywesa endiga za Labani kojja we;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo bwe yalaba Laakeeri, muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n’endiga za Labbaani, n’agenda n’ayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gw’oluzzi n’anywesa endiga za Labbaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Yakobo bwe yalaba Laakeeri muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n'endiga za Labbaani, Yakobo n'asembera, n'ayiringisa ejjinja n'aliggya ku luzzi n'anywesa ekisibo kya Labbaani mwannyina nnyina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo bwe yalaba Raakeeli muwala wa kojjaawe Labani awamu n'endiga za kojjaawe oyo, n'agenda n'ayiringisa ejjinja okusaanukula oluzzi, n'anywesa endiga za Labani kojjaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Yakobo bwe yalaba Laakeeri muwala wa Labbaani mwannyina nnyina n'endiga za Labbaani mwannyina nnyina, Yakobo n'asembera, n'ayiringisa ejjinja n'aliggya ku kamwa k'oluzzi, n’anywesa ekisibo kya Labbaani mwannyina nnyina.