Genesis 29:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwawulira amawulire ga Yakobo mutabani wa mwannyina, n'addukanako okumusisinkana, n'amuwambaatira, n'amunywegera, n'amutwala ewuwe. Yakobo n'amunyumiza ebyo byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Labbaani bwe yawulira ebya Yakobo, mutabani wa mwannyina, n’adduka okumusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amulamusa bulungi, n’amutwala mu nnyumba ye. Yakobo n’ategeeza Labbaani byonna ebyaliwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Labbaani bwe yawulira ebigambo bya Yakobo omwana wa mwannyina nga yazze, n'adduka najja okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera, n'amuyingiza mu nnyumba ye. Yakobo n'abuulira Labbaani ebigambo ebyo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Labani bwe yawulira nga Yakobo omwana wa mwannyina azze, n'adduka okumusisinkana. N'amugwa mu kifuba, n'amunywegera n'amuyingiza mu nnyumba ye. Yakobo n'abuulira Labani byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Labbaani bwe yawulira ebigambo bya Yakobo omwana wa mwannyina n'addukana okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera, n'amuyingiza mu nnyumba ye. N'abuulira Labbaani ebigambo ebyo byonna.