Genesis 29:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Labani n'amugamba nti: “Olw'okubeera muganda wange lw'onompeereza otyo nga tewali k'ofuna? Mbuulira kye mba nkusasula.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Olw’okubanga oli waluganda ky’onoova ompeerereza obwereere? Ntegeeza empeera yo bw’eneebanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Labbaani n'agamba Yakobo nti, “Olw'okuba ng'oli muganda wange ky'onoovanga ompererezanga obwereere? Mbuulira, empeera yo eneebanga ki?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Labani n'agamba Yakobo nti: “Tojja kumpeererezanga bwereere newaakubadde oli waaluganda. Mbuulira, oyagala mpeera ki?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Labbaani n'agamba Yakobo nti Kubanga oli muganda wange kyekiva kikugwanira okumpeererezanga obwereere? mbuulira, empeera yo eneebanga ki?