Genesis 29:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo yali ayagala Rakeli, n'agamba nti: “Ka nkuweereze emyaka musanvu ompe Rakeli muwala wo omuto.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo yayagala Laakeeri, era n’agamba Labbaani nti, “Nzija kukuweereza emyaka musanvu olwa muwala wo omuto Laakeeri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'ayagala Laakeeri; n'ayogera nti, “Nja kukuweereza okumala emyaka musanvu ompe Laakeeri muwala wo omuto.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'ayagala Raakeeli, n'agamba nti: “Nja kukuweereza okumala emyaka musanvu ompe Raakeeli muwala wo omuto.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'ayagala Laakeeri; n'ayogera nti Naakuweererezanga emyaka musanvu mpeebwe Laakeeri omwana wo omuto.