Genesis 29:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gye yakuba amaaso nga ku luzzi mu nnimiro, n'amagana asatu ag'endiga nga zigalamidde kumpi nalwo kubanga omwo amagana mwe baagaweeranga ne ganywa; ejjinja eddene lyali lisaanikidde ku luzzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yatunula n’alaba oluzzi mu nnimiro, ng’ebisibo bisatu eby’endiga zigalamidde awo ku lwo, kubanga awo we zaanywesezebwanga. Ejjinja eryasaanikiranga ku mumwa gw’oluzzi olwo lyali ddene,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atunula, era, laba, oluzzi mu nnimiro era, laba, ebisibo bisatu eby'endiga nga zigalamidde awo awali oluzzi; kubanga mu luzzi omwo mwe baanywesanga ebisibo; n'ejjinja eryali ku kamwa k'oluzzi lyali ddene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yatunula, n'alaba oluzzi mu nnimiro, n'amagana asatu ag'endiga, nga zigalamidde awo awali oluzzi, kubanga mu luzzi omwo, mwe baanywesezanga amagana. Lwalina ejjinja eddene erirusaanikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atunula, era, laba, oluzzi mu nnimiro, era, laba, ebisibo bisatu eby'endiga nga zigalamidde awo awali oluzzi: kubanga mu luzzi omwo mwe baanywesanga ebisibo: n'ejjinja eryali ku kamwa k'oluzzi lyali ddene.