Genesis 29:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo okufuna Rakeli, yamala emyaka musanvu ng'aweereza, kyokka yagiraba ng'ennaku obunaku olw'okwagala kwe yali amwagalamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Yakobo n’akolerera Laakeeri emyaka musanvu, naye ne giba ng’ennaku obunaku gy’ali kubanga yamwagala nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'aweerereza emyaka musanvu aweebwe Laakeeri; ne gimulabikira ng'ennaku entono olw'okwagala kwe yamwagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'aweerereza emyaka musanvu aweebwe Raakeeli, ne gimulabikira ng'ennaku entono, olw'okwagala kwe yamwagalamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'aweerereza emyaka musanvu aweebwe Laakeeri; ne gifaanana ng'ennaku si nnyingi olw'okwagala kwe yamwagala.