Genesis 29:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akawungeezi n'addira Leya n'amuyingiza gy'ali, Yakobo ne yeebaka ne Leya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mu kiro Labbaani n’atwala muwala we Leeya n’amuwa Yakobo okumutwala okuba mukazi we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka akawungeezi n'addira Leeya omwana we, n'amumuleetera; ne yeegatta naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekiro ekyo n'addira muwala we Leeya n'amutwalira Yakobo, ne yeegatta naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka akawungeezi n'addira Leeya omwana we, n'amumuleetera; n'ayingira gy'ali.