Genesis 29:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba mukoddomi we nti: “ Kiki kino kye wankoze? Saakuweereza lwa Rakeli? Lwaki wannimbyerimbye?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe bwakya, Yakobo n’alaba nga bamuwadde Leeya. Kwe kugamba Labbaani nti, “Onkoze ki kino? Saakuweereza lwa Laakeeri? Kale lwaki onimbye?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe bwakya enkya, Yakobo n'alaba nga ye Leeya; n'agamba Labbaani nti, “Kiki kino ky'onkoze? Ssaakuweereza lwa Laakeeri? Kale kiki ekikunnimbizza?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera ku makya, Yakobo lwe yamanya nti oyo ye Leeya. N'agamba Labani nti: “Kino kiki ky'onkoze? Ssaakuweereza lwa Raakeeli? Kale lwaki onnimbye?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka enkya n'alaba nga ye Leeya: n'agamba Labbaani nti Kino kiki ky'onkoze? saakuweereza lwa Laakeeri? kale kiki ekikunnimbizza?