Genesis 29:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'akkiriza; wiiki bwe yaggwaako Labani n'amuwa muwala we Rakeli abeere mukazi we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo Yakobo n’akikkiriza, n’amalako wiiki emu eyo, Labbaani n’alyoka amuwa Laakeeri muwala we okuba mukazi we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'akkiriza, era ennaku omusanvu bwe zaggwaako, Labbaani n'amuwa muwala we Laakeeri okuba mukazi we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'akkiriza, era ennaku omusanvu bwe zaggwaako, Labani n'amuwa muwala we Raakeeli okuba mukazi we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'akola bw'atyo, n'amala ennaku ze musanvu: n'amuwa Laakeeri omwana we okumuwasa.