Genesis 29:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo ne yeebaka ne Rakeli; n'amwagala okusinga Leya; n'aweereza Labani emyaka emirala musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo n’atwala Laakeeri n’aba mukazi we; n’ayagala Laakeeri okusinga Leeya, n’aweereza Labbaani emyaka egyo emirala omusanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo ne yeegatta ne Laakeeri, era n'amwagala nnyo okusinga Leeya, n'aweereza Labbaani nate, emyaka emirala musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo era ne Raakeeli ne yeegatta naye, n'amwagala okusinga Leeya. N'aweereza Labani okumala emyaka emirala musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ayingira n'eri Laakeeri, era n'ayagala Laakeeri okusinga Leeya, n'amuweerereza nate emyaka musanvu emirala.