Genesis 29:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Leya n'aba olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi n'amutuuma Rubeni ng'agamba nti: “Omukama alabye ennaku yange, kati baze ananjagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Leeya n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Lewubeeni, ng’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye okubonyaabonyezebwa kwange: ddala baze ananjagala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Leeya n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Lewubeeni; kubanga yayogera nti, “Kubanga Mukama atunuulidde ekibonoobono kyange; kubanga kaakano baze ananjagala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Leeya n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Rewubeeni, kubanga yagamba nti: “Mukama alabye okubonaabona kwange, kaakano baze ananjagala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Leeya n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi n’amutuuma erinnya lye Lewubeni: kubanga yayogera nti Kubanga Mukama atunuulidde ekibonoobono kyange; kubanga kaakano baze ananjagala.