Genesis 29:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aba n'olubuto olulala n'azaala omwana wa bulenzi n'agamba nti: “Kubanga Omukama awulidde nti nakyayibwa, ampadde n'ono.” N'amutuuma Simewoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aba olubuto olulala, n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye nga ndi mukyawe, kyavudde ampa omwana owoobulenzi omulala; n’amutuuma erinnya Simyoni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aba olubuto nate n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Kubanga Mukama yawulira nga nkyayibwa, era ky'avudde ampa n'omwana ono.” N'amutuuma erinnya lye Simyoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi n'agamba nti: “Mukama yawulira nga ssaagalibwa kyavudde era ampa omwana ono.” N'amutuuma erinnya Simyoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aba olubuto nate n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti Kubanga Mukama yawulira nga nkyayibwa kyavudde ampa n'omwana ono era: n'amutuuma erinnya lye Simyoni.