Genesis 29:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aba olubuto ogwokusatu, n'azaala omulala ow'obulenzi n'agamba nti: “Leero baze anannywererako, kubanga mmuzaalidde abaana basatu ab'obulenzi;” oyo kyeyava amutuuma Leevi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kale kaakano baze ajja kuba bumu nange, kubanga mmuzaalidde abaana abalenzi basatu.” Omwana kyeyava atuumwa Leevi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Kale nno omulundi guno baze aneegatta nange, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi basatu.” N'amutuuma erinnya lye Leevi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'agamba nti: “Omulundi guno baze aneegatta nange, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi basatu.” Kyeyava amutuuma erinnya Leevi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti Kale nno omulundi guno baze aneegatta nange, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi basatu: erinnya lye kyeryava liba Leevi.