Genesis 29:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaba olubuto ogwokuna n'azaala mulenzi, n'agamba nti: “Kati nzija kutendereza Omukama,” kwe kumutuuma Yuda. N'alekera awo okuzaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Leeya n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi, n’agamba nti, “Ku luno nzija kutendereza Mukama,” kyeyava amutuuma Yuda; n’alekayo okuzaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Omulundi guno nnaamutendereza Mukama;” kyeyava amutuuma erinnya lye Yuda; n'alekera awo okuzaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi. N'agamba nti: “Omulundi guno nja kutendereza Mukama.” Kyeyava amutuuma erinnya Yuda. N'alekera awo okuzaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi: n'ayogera nti Omulundi guno naamutendereza Mukama: kyeyava amutuuma erinnya lye Yuda; n'aleekera awo okuzaala.