Genesis 29:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'abuuza abasumba nti: “Abooluganda, muva wa?” Ne baanukula nti: “Tuva Karani.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo n’abuuza abasumba nti, “Abooluganda muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva Kalani.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'abagamba nti, “Baganda bange, muva wa?” Ne boogera nti, “Tuva Kalani.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'abuuza abasumba nti: “Baganda bange, muva wa?” Ne baddamu nti: “Tuva Harani.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'abagamba nti Baganda bange, muva wa? Ne boogera nti Tuli ba Kalani.