Genesis 3:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusota gwali mukupya okusinga ebiramu byonna eby'omu nsiko Omukama Katonda bye yali akoze. Gwagamba omukazi nti: “Ddala kituufu, Katonda yabagaana okulya ku buli muti ogw'omu nnimiro?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ez’omu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko, Mukama Katonda ze yakola. Ne gugamba omukazi nti, “Bw'atyo bwe yayogera Katonda nti, ‘Temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku?’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu ttale, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gubuuza omukazi nti: “Ddala Katonda yagamba nti: ‘Temulyanga ku miti gyonna egy'omu nnimiro?’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko, ze yakola Mukama Katonda. Ne gugamba omukazi nti Bw'atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku?