Genesis 3:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja n'ayanukula nti: “Omukazi gwe wampa abeere nange ye yampadde ekibala ekiva ku muti, ne ndya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja n’addamu nti, “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange y’ampadde ekibala ne ndya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja n'addamu nti, “Omukazi, gwe wampa okubeeranga nange, ye ampadde ku kibala eky'oku muti, ne ndya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'addamu nti: “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange, ye ampadde ku kibala ne ndya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja n'ayogera nti Omukazi, gwe wampa okubeeranga nange ye ampadde ku muti, ne ndya.