Genesis 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama Katonda n'agamba omukazi nti: “Kiki kino ky'okoze?” Omukazi n'ayanukula nti: “Omusota gwannimbye, ne ndya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, “Kiki kino ky’okoze?” Omukazi n’addamu nti, “Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda n'agamba omukazi nti, “Kiki kino ky'okoze?” Omukazi n'ayogera nti, “Omusota gunsenzesenze, ne ndya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda n'abuuza omukazi nti: “Lwaki okoze kino?” Omukazi n'addamu nti: “Omusota gwe gwannimbyerimbye, ne ndya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda n'agamba omukazi nti Kiki kino ky'okoze? Omukazi n'ayogera nti Omusota gunsenzesenze, ne ndya.