Genesis 3:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda n'agamba omusota nti: “Kubanga okoze kino, ovumiriddwa mu bisolo byonna eby'awaka n'ebisolo byonna eby'omu nsiko. Oneewaluliranga ku lubuto lwo; onoolyanga nfuufu ennaku zonna ez'obulamu bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’agamba omusota nti, Kubanga okoze kino okolimiddwa okukira ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko, oneekululiranga ku lubuto lwo era onoolyanga nfuufu ennaku zonna ez’obulamu bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda n'agamba omusota nti, “Kubanga okoze kino, okolimiddwa ggwe okusinga ensolo zonna ezifugibwa awaka, n'ez'omu nsiko. Oneekululiranga ku lubuto, era onoolyanga nfuufu ennaku zonna ez'obulamu bwo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama Katonda n'agamba omusota nti: “Nga bw'okoze kino, okolimiddwa mu nsolo zonna enfuge n'ez'omu ttale. Oneekululiranga ku lubuto lwo, era onoolyanga nfuufu obulamu bwo bwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda n'agamba omusota nti, Kubanga okoze kino, okolimiddwa ggwe okusinga ensolo ez'omu nnyumba zonna, n'okusinga buli nsolo ey'omu nsiko; onootambuzanga olubuto, onoolyanga enfuufu ennaku zonna ez'obulamu bwo: