Genesis 3:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba omukazi nti: “Nzija kwongera nnyo okulumwa, abaana bo onoobazaalanga mu bulumi, ojja kuyaayaaniranga musajja wo, ate ye anaakufuganga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba omukazi nti, “Nnaayongeranga nnyo ku bulumi bwo ng’oli lubuto, onoozaaliranga mu bulumi; musajja wo anaakukoleranga bye weetaaga kyokka anaakufuganga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba omukazi nti, “Nnaayongeranga nnyo obulumi bwo mu kuzaala abaana; mu bulumi mwonoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri balo, naye anaakufuganga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba omukazi nti: “Nnaakwongerangako obulumi ng'oli lubuto. Mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana. Kyokka newaakubadde nga kiri bwe kityo, oneegombanga balo, era ye anaakufuganga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba omukazi nti Okwongera nnaakwongerangako obulumi bwo n'okubeeranga kwo olubuto; mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri musajja wo, naye anaakufuganga.