Genesis 3:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye omusajja n'amugamba nti: “Kubanga wawulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nakukomereza nti: ‘Togulyangako,’ “ettaka livumiriddwa olw'okubeera ggwe. Okuggyamu ky'olya onookuluusananga ennaku zonna ez'obulamu bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n’olya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako, “ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu ntuuyo zo mw’onoofuniranga ekyokulya ennaku zonna ez’obulamu bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti, ‘Togulyangako,’ ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw'onoggyanga eby'okulya ennaku zonna ez'obulamu bwo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba omusajja nti: “Nga bwe wawulirizza mukazi wo, n'olya ekibala kye nakugamba nti tokiryangako, ensi ekolimiddwa olw'okubeera ggwe. Onootegananga okufuna ebyokulya obulamu bwo bwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba Adamu nti Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti Togulyangako: ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw'onoggyanga ebyokulya ennaku zonna ez'obulamu bwo;