Genesis 3:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Onoolyanga emmere ng'evudde mu ntuuyo zo, okutuusa lw'olidda mu ttaka, kubanga mwe waggyibwa, kubanga oli nfuufu, era mu nfuufu mw'olidda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ntuuyo zo mw’onoggyanga ekyokulya, okutuusa lw’olidda mu ttaka mwe wava, kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mw’olidda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu ntuuyo ez'omu maaso go mwonooliiranga emmere, okutuusa lw'olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggyibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw'olidda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onookolanga nnyo n'otuuyana okufuna emmere gy'olya, okutuusa lw'olidda mu ttaka mwe waggyibwa, kubanga ggwe oli nfuufu, era mu nfuufu mw'olidda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu ntuuyo ez'omu maaso go mw'onooliiranga emmere,-okutuusa lw'olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw'olidda.