Genesis 3:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda n'agamba nti: “Laba, omusajja wuuno afuuse ng'omu ku ffe mu kumanya obulungi n'obubi, kati sikulwa ng'agololera omukono gwe ku muti ogw'obulamu n'alyako n'aba mulamu emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama Katonda n’agamba nti, “Laba omuntu afuuse ng’omu ku ffe okumanyanga ekirungi n’ekibi; kale kaakano talwa kugolola mukono gwe n’anoga ku muti ogw’obulamu n’alya, n’awangaala emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda n'ayogera nti, “Laba, omuntu afuuse ng'omu ku ffe, okumanyanga obulungi n'obubi; kaakano, aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti ogw'obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n'emirembe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda n'agamba nti: “Omuntu afuuse ng'omu ku ffe, ng'amanyi ekirungi n'ekibi. Kaakano tajja kulekebwa kunoga kibala ku muti ogw'obulamu na kukirya okuwangaala emirembe n'emirembe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda n'ayogera nti Laba, omuntu afuuse ng'omu ku ffe, okumanyanga obulungi n'obubi; kaakano, aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti ogw'obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n'emirembe;