Genesis 3:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda bwe yamala okugoba omusajja, ku ludda olw'ebuvanjuba, n'ateekayo bakerubi n'ekitala eky'omuliro nga kyetala, okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogw'obulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yamala okugobamu omuntu, n’ateekamu Bakerubi n’ekitala ekimyansa eky’obwogi ku buli ludda okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogw’obulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo n'agoba omuntu; n'ateeka bakerubi ebuvanjuba w'olusuku Edeni, era n'ekitala ekimyansa, ekikyukakyuka, okukuumanga ekkubo erigenda ku muti ogw'obulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebuvanjuba w'ennimiro y'e Edeni, Katonda n'ateekayo bakerubi n'ekitala ekimyansa, ekikyukira ku njuyi zonna, okukuumanga ekkubo eriraga ku muti gw'obulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo n'agoba omuntu; n'azzaamu ebuvanjuba mu lusuku Adeni bakerubi, era n'ekitala ekimyansa ekikyukakyuka okukuumanga ekkubo ery'omuti ogw'obulamu.