Genesis 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye Katonda amanyi nti: Olunaku lwonna lwe muliba mukiriddeko, amaaso gammwe gagenda kuzibuka, mugenda kubeera nga Katonda nga mumanyi ekirungi n'ekibi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Katonda amanyi nga lwe muligulyako amaaso gammwe lwe galizibuka, era mulifaanana nga ye, okumanyanga ekirungi n’ekibi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n'obubi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yayogera bw'atyo, kubanga amanyi nga bwe muligulyako, amaaso gammwe gagenda kuzibuka, mube nga Katonda, mumanye ekirungi n'ekibi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n'obubi.