Genesis 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omukazi n'alaba ng'omuti gwali mulungi okulya, nga gusanyusa amaaso, era nga gwegombesa olw'amagezi ge guwa, n'atoola ku kibala kyagwo n'alya, n'awa ne bba gwe yali naye n'alya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukazi bwe yalaba ng’omuti mulungi nga gusanyusa okutunulako era gwegombebwa okuleeta amagezi, n’anoga ekibala kyagwo n’alya; n’awaako ne bba naye n’alya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, n'omuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne bba naye n'alya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi n'alaba ng'ebibala by'omuti birungi okulya, era nga nagwo gwennyini gusanyusa amaaso. N'agwegomba, kubanga guleeta amagezi. Kyeyava anoga ku bibala byagwo, n'alya. N'awaako ne bba, naye n'alya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso n'omuti nga gwa kwegombebwa, okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne ku musajja we naye n'alya.