Genesis 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja ne mukazi we bwe baawulira enswagiro z'Omukama Katonda eyali abaalabaala mu nnimiro mu kawewo ak'akawungeezi, ne beekweka Omukama Katonda mu miti gy'ennimiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng’atambula mu nnimiro, mu budde obuweeweevu. Omusajja n’omukazi ne beekweka mu miti Mukama Katonda aleme okubalaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng'atambula mu lusuku mu kiseera eky'akawungeezi, omusajja ne mukazi we ne beekweka wakati mu miti egy'omu lusuku, Mukama Katonda aleme okubalaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwegguloggulo, ne bawulira Mukama Katonda ng'atambula mu nnimiro, ne beekweka mu miti egy'omu nnimiro, aleme okubalaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng'atambula mu lusuku mu kiseera eky'empewo: omusajja ne mukazi we ne beekweka mu maaso ga Mukama Katonda wakati mu miti egy'omu lusuku.