Genesis 3:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda n'ayita omusajja n'amubuuza nti: “Oli ludda wa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama Katonda n’ayita omusajja nti, “Oli ludda wa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda n'ayita omusajja n'amugamba nti, “Oli ludda wa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda n'akoowoola omusajja nti: “Oli ludda wa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda n'ayita omusajja n'amugamba: nti Oli luuyi wa?