Genesis 30:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwatuuka, mu budde obw'okusala eŋŋano, Rubeni n'agenda, n'asanga mu nnimiro nakati; n'amutwalira nnyina Leya. Rakeli n'agamba nti: “Mpa ku nakati w'omwana wo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lumu mu biseera eby’amakungula g’eŋŋaano Lewubeeni n’agenda mu nnimiro, n’anoga amadudayimu, n’agaleetera nnyina Leeya. Laakeeri n’agamba Leeya nti, “Nkusaba ompe ku madudayimu g’omwana wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biseera by'amakungula g'eŋŋaano Lewubeeni n'agenda mu nnimiro n'alabayo amadudayimu, n'agaleetera nnyina Leeya. Awo Laakeeri n'agamba nti, “Nkwegayiridde mpa ku madudayimu ag'omwana wo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biseera eby'amakungula g'eŋŋaano, Rewubeeni n'alaga mu nnimiro, n'azuulayo ebimera ebiyitibwa mandurake, n'abireetera Leeya, nnyina. Awo Raakeeli n'agamba Leeya nti: “Nkwegayiridde, mpa ku mandurake g'omwana wo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lewubeeni n'agenda mu nnaku mwe baali bakungulira eŋŋaano, n'alaba amadudayimu mu nnimiro, n'agaleetera nnyina Leeya. Awo Laakeeri n'amugamba Leeya nti Mpa, nkwegayiridde, ku madudayimu ag'omwana wo.