Genesis 30:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli n'ayanukula nti: “Bbaffe wamwekomya, ekyo tekikumalira; ate ne nakati wa mutabani wange omuntwaleko?” Ko Rakeli nti: “Kale ekiro kino, yeebake naawe olwa nakati wa mutabani wo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ye n’amuddamu nti, “Okiyita kitono ggwe okunnyagako baze? Ate otwale n’amadudayimu g’omwana wange?” Laakeeri n’amugamba nti, “Kale anaaba naawe ekiro kino olw’amadudayimu g’omwana wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amuddamu n'ekkabyo nti, “Okiyita kitono okunzigyako baze? Era oyagala n'okunzigyako n'amadudayimu g'omwana wange?” Laakeeri n'amugamba nti, “Bw'onompa amadudayimu g'omwana wo, Yakobo anaasula naawe ekiro kino.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Leeya n'amuddamu nti: “Okunzigyako baze tekimala? Kaakano oyagala n'okunzigyako amandurake g'omwana wange?” Raakeeli n'amugamba nti: “Bw'ompa amandurake g'omwana wo, Yakobo aneebaka naawe ekiro kino.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba ye nti Kigambo kitono okunziyako baze? era oyagala okunziyako n'amadudayimu ag'omwana wange? Laakeeri n'amugamba nti Kyanaava asula naawe ekiro kino olw'amadudayimu ag'omwana wo.