Genesis 30:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akawungeezi, Yakobo yali ava mu nnimiro, Leya n'agenda okumusisinkana, n'amugamba nti: “Ojja kwebaka nange, kubanga nakuguze ne nakati wa mutabani wange.” Ne yeebaka naye ekiro ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo bwe yakomawo okuva mu nnimiro akawungeezi, Leeya n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Weetabe nange, kubanga nkuguze n’amadudayimu g’omwana wange.” Kwe kwetaba naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo bwe yava mu nnimiro akawungeezi, Leeya n'afuluma okumusisinkana, n'agamba nti, “Ojja kusula nange ekiro kino, kubanga mpaddeyo amadudayimu g'omwana wange okukugula.” Yakobo n'asula naye ekiro ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo bwe yava mu nnimiro akawungeezi, Leeya n'afuluma okumusisinkana, n'agamba nti: “Ojja kwebaka nange ekiro kino, kubanga mpaddeyo amandurake g'omwana wange okukugula.” Ne yeebaka naye ekiro ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'ava mu nnimiro akawungeezi, Leeya n'afuluma okumusisinkana, n'ayogera nti Kikugwanira okuyingira gye ndi; kubanga mazima nkuweeredde amadudayimu ag'omwana wange. N'asula naye ekiro ekyo.