Genesis 30:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Katonda ampadde empeera, kubanga baze namuwa omuzaana wange;” omwana n'amutuuma Yissakari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Leeya n’agamba nti, “Katonda ansasudde empeera yange, kubanga nawa baze, omuweereza wange,” omwana kyeyava amutuuma Isakaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Leeya n'ayogera nti, “Katonda ampadde empeera yange, kubanga nnawa baze omuzaana wange.” N'amutuuma erinnya lye Isakaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Leeya n'agamba nti: “Katonda ampadde empeera yange, kubanga nawa baze omuzaana wange.” N'amutuuma Yissakaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Leeya n'ayogera nti Katonda ampadde empeera yange, kubanga nawa baze omuzaana wange: n'amutuuma erinnya lye Isakaali.