Genesis 30:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bwa Yakobo ne bweserera ku Rakeli, n'amugamba nti: “Nze gw'oyise Katonda akummye omwana mu lubuto lwo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, n’amugamba nti, “Nze Katonda akummye okuzaala?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, n'agamba nti, “Nze ndi mu kifo kya Katonda, eyakumma okuzaala abaana?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'asunguwalira Raakeeli n'agamba nti: “Nze ndi mu kifo kya Katonda, eyakumma okuzaala abaana?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri: n'ayogera nti Nze ndi mu kifo kya Katonda, eyakumma ebibala eby'olubuto?