Genesis 30:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Leya n'agamba nti: “Katonda ampadde ekirabo ekirungi: leero baze ananteekamu ekitiibwa olw'okumuzaalira abaana omukaaga;” kyeyava amutuuma Zebuluni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Leeya kwe kugamba nti, “Katonda ampadde ekirabo, kaakano baze anaabanga nange, kubanga muzaalidde abaana aboobulenzi mukaaga.” Ow’omukaaga kyeyava amutuuma Zebbulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Leeya n'ayogera nti, “Katonda ampadde ekirabo eky'obugole ekirungi; kaakano baze ananzisaamu ekitiibwa kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi mukaaga.” N'amutuuma erinnya lye Zebbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Leeya n'agamba nti: “Katonda ampadde ekirabo eky'obugole ekirungi. Kaakano baze ananzisaamu ekitiibwa, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi mukaaga.” N'amutuuma erinnya Zebbulooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Leeya n'ayogera nti Katonda ampadde ekirabo eky'obugole ekirungi; kaakano baze anaatuulanga nange kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi mukaaga: n'amutuuma erinnya lye Zebbulooni.