Genesis 30:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mpa bakazi bange n'abaana bange be nakolerera ewuwo, ŋŋende, naawe omanyi bulungi omulimu gwe nkukoledde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mpa bakazi bange n’abaana bange, be nkuweererezza, ondeke ŋŋende: kubanga omanyi okuweereza kwe nkuweerezza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mpa bakazi bange n'abaana bange be nnakuweererezanga, ndyoke ŋŋende: kubanga omanyi bwe nkuweerezza obulungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mpa bakazi bange n'abaana bange, be nakuweererezanga, ndyoke ŋŋende, kubanga omanyi bwe nkuweerezza obulungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpa bakazi bange n'abaana bange be nnakuweererezanga, nneegendere: kubanga omanyi okuweereza kwange kwe nnakuweerezanga.