Genesis 30:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'amwanukula nti: “Omanyi nga bwe nakuweereza, n'amagana go engeri gye geeyongeramu nga nkyagakuttemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo n’amuddamu nti, “Ggwe kennyini omanyi nti nkuweerezza era n’ensolo zo nga nzaazizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'amugamba nti, “Omanyi bwe nnakuweerezanga, nga ndabirira ebisibo byo, era ebisibo byo bwe byali nange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'agamba nti: “Ggwe wennyini omanyi bwe nakuweerezanga, era n'amagana go bwe gaali, nga nze ngalabirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Omanyi bwe nnakuweerezanga, era ebisibo byo bwe byali nange.