Genesis 30:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ko Rakeli nti: “Omuzaana wange Biluwa wuuno; weebake naye, anzaalire abaana, nange nfunire mu ye ezzadde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laakeeri kwe kumwanukula nti, “Omuweereza wange Biira wuuno, weetabe naye azaalire ku maviivi gange, ndyoke nfune abaana nga mpita mu ye. ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Twala omuzaana wange Bira, weegatte naye alyoke azaalire ku maviivi gange, nange nfune abaana mu ye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Raakeeli n'agamba nti: “Omuzaana wange Biliha wuuno, weebake naye, alyoke azaalire ku maviivi gange, era nange nfune abaana mu ye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Laba omuzaana wange Bira, yingira gy'ali; alyoke azaalire ku maviivi gange, era nange nfune abaana mu ye.