Genesis 30:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Labani n'agamba nti: “Nnaakuwa ki?” Ko ye nti: “Tojja kubaako ky'ompa. Kino kyokka kye nsaba onkolere: ndeka nziremu okulunda, n'okukuuma amagana go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Labbaani kwe ku mubuuza nti, “Nkuwe ki?” Yakobo n’amuddamu nti, “Tojja kubaako ky’ompa, okuggyako okunkolera kino, ndyoke nneeyongere okulunda ekisibo kyo:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Labbaani n'amubuuza nti, “Nnaakuwa ki?” Yakobo n'amugamba nti, “Tolina ky'onompa. Nja kwongera okulabirira ebisibo byo singa onoonkolera kino:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Labani n'abuuza nti: “Nnaakuwa ki?” Yakobo n'addamu nti: “Toliiko ky'onompa. Nja kwongera okulabirira amagana go, singa ononkolera kino:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Naakuwa ki? Yakobo n'ayogera nti Toliiko ky'onompa: bw'olinkolera kino, naalundanga nate ekisibo kyo, naakikuumanga.