Genesis 30:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ka mpiteeyite mu magana go gonna olwa leero ŋŋende nga nnondamu endiga zonna eza bujjagijjagi n'eza bitanga, n'obuliga bwonna obuddugavu, n'embuzi eza bujjagijjagi n'eza bitanga, zino y'eneebanga empeera yange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nzikiriza mpite mu kisibo kyo leero, nziggyemu buli ndiga enkulu eza bugondo n’eza bitanga, n’endiga ento enzirugavu, n’embuzi eza bugondogondo n’ezabitanga mu mbuzi, era ezo ze zinaabeera empeera yange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Leka mpite mu kisibo kyo kyonna leero, ŋŋende nga nzijamu buli mbuzi n'endiga enkulu, eza bujagijagi n'ez'ebitanga, na buli ndiga nto enzirugavu okuba empeera yange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ka mpite mu magana go gonna olwaleero, nga ŋŋenda nzigyamu buli ndiga na buli mbuzi eya bitanga n'ey'amabalabala, na buli ndiga nto enzirugavu. Ezo ze zinaaba empeera yange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naayita leero mu kisibo kyo kyonna, nga nziyamu buli eya bujagijagi n'eya bitanga, na buli nzirugavu mu ndiga, n'eza bitanga n'eza bujagijagi mu mbuzi: era y'eneebanga empeera yange.